Eyasuulibwawo bazadde be Bajjaajabe bamuweeredde namalako

EYASUULIBWAWO BAZADDE BE AWEEREDDWA BAJJAAJABE:
Ebifaananyi ebitambuzibwa ku mikutu gya Social Media egyenjawulo bya Edward Kasenge eyasuulibwawo Maama we ne Taata we nga wa mwaka gumu.
Bajjaaja be abakyala batandika okumulabirira era byayiseemu sibitono kuba balina okwewola ensimbi okuva mu bibiina ebiwola ensimbi okusobola okumuweerera.
Omu ku Bajjaaja be akolera mu katale ka Kitunzi e Lunguja ate omulala atunda manda. Bano tebamulekerera yadde olumu yalina okuddamu siniya eyokubiri wabula nannyini ssomero bweyamanya ku mbeera gyayitamu yamuleka agende mu siniya eyokubiri. Yaggwa Siniya eyomukaaga nebamusaba agende mu Technical wabula nagaana kuba ekirooto kye kyali kyakugenda Makerere. Bajjaajabe bamuwa omukisa ogwokubiri era nayita.
Kasenge yasomye Ddiguli ya Bachelors in Industrial and Organizational Psychology (BIOP).
Tukwagaliza buwanguzi.

instagram likes kopen

Leave a Reply