Waliwo omusajja mu mu buvanjuba bwa Disitulikiti y’e Sironko olwaleero akaligiddwa emyaka 25 egikulungule mu nkomyo lwa kutta mukyala we.
Henry Gidudu akaligiddwa Omulamuzi David Wangutusi e Mbale , obujulizi obumuluma bwebukakasizza nti yatta mukyalawe Catherine Nadunga mu mwezi gwa Muzigo mu 2010.
Wabula nga Gidudu tannasalirwa kibonerezo kino, munnamateeka we Isaac Nabende yali yasaba Omulamuzi amuwe ekibonerezo ekisaamusaamu asobole okulabirira abaana baabwe ababiri kubanga nnyaabwe yafa.
Wabula Annet Namatovu omuwaabi wa Gavumenti n’asaabulula okusaba kuno era n’asaba Kkoooi ewe Gidudu ekibonerezo ekya emyaka 25 mu nkomyo kibe ekyokulabirako eri abasajja abalala abatirimbula bakyala baabwe .