Namata Susan 21 nga mutuuze w’e Najjeera mu Kira Municipality mu Wakiso District asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Stella Maris Amabilis navunaanibwa omusango gw’okukozesa obubi Computer saako n’okuvvoola wamu n’okuvuma nga akozesa omukutu gwa Internet.
Kigambibwa nti mu mwezi gw’omunaana 2018, Namata nga ali ne banne mu Kampala ne Wakiso bakwata akatambi nebatandika okukasasaanya nga basaba era wamu n’okufaananya omukulembeze w’eggwanga HE. Yoweri Kaguta Museveni amakugunyu, empitambi wamu n’omukutiisatiisa nti bajja kumukubisa ebitundu byabwe eby’ekyaama ku mannyo gge ebintu ebyawulikika nga bimuwemula saako n’okumutyoboola.
Omusango gwokubiri Namata yakozesa bubi internet nga asaasanya akatambi ku whatsapp ekyatataganya eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga.
Namata yakwatibwa nga 27-August abasirikale okuva ku CPS aba Tracking essimu ye era nga abadde akuumirwa ku Poliisi. Emisango gyombi agyegaanye era omuwaabi wa Gavumenti nategeeza nti okunoonyereza kwa Poliisi kukyagenda mu maaso. Omulamuzi amusindise e Luzira ku alimanda gyanaava enkya adde okusaba okweyimirirwa.