Ebikolwa by’okwewamba efuukidde ddala ensonga mu bitongole by’ebyokwerinda nga wetwogerera, kumpi ebitongole by’ebyokwerinda okwetooloola eggwanga bifuna emawulire gano nga waliwo omuntu atakubikako kimunye.
Wetwogerera nga ekyakasembayo okubaawo kiri Mbarara nga Police eriko omukazi gw’erina mu mikono gyayo agambibwa okwewamba nga ono ye Mellon Nabaasa ow’emyaka omutuuze ku kyalo Katete ekisagibwa mu Divizoni y’e Nyamitanga mu Munisipaali y’e Mbarara.
Nabaasa yeewamba nga 06 Omwezi guno nga ayagala obukadde busatu n’ekitundu okuva mu b’oluganda lwe era ng’abadde akozesa munne Komuhangi okusaba ssente zino era ng’alaga nti abaamuwamba nebamutwala e Lyantonde era abantu be nebaweereza ensimbi zino ku nnamba ya Nabaasa ( Omuwambe).
Wabula ab’oluganda lwa Nabaasa ensonga eno baagiyingizaamu Police era nebalondoola ennamba ye ( Tracking), okukizuula nga ali Isingiro gyeyekukumye ( gyeyeewambira) era nebamuyoola, kati emikono gyazze dda gyegitawemera ntungo ne munne nga bali ku Mbarara Central Police Station.