Ssemaka ne Mukyalawe wamu n’abaana baabwe 2 basirikkidde mu nabbambula w’omuliro akutte ennyumba yaabwe ku kyalo ekimu ekisangibwa mu gombolola y’e Nyenga mu Disitulikiti y’e Buikwe ekiro ekikeesezza olwa leero .
Kigenyi Friday ow’emyaka 35, ne Mukyalawe Eva Nakisuyi myaka 28 n’abaana baabwe Namuga ne Kigenyi beebasangiddwa nga zembuyaga ezikaza engoye .
Police e Buikwe egamba nti etandise okunoonyereza ku kiviiriddeko akabenje kano oba nga omuliro gukumiddwa mu bugenderevu oba nedda .
Entiisa eno erese miranga na maziga mu kyalo kino . Kitalo !