Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo olunaku olwaleero nalagira nti famire z’abayizi abafiiridde mu kabenje ku ssomero lya Kasaka Secondary school e Gomba buli emu eweebwe obukadde bwensimbi 5 ate buli muyizi eyalumiziddwa mu kabenje kano aweebwe akakadde 1. Bino abyogeredde Kololo mu kwogera kwe eri Palamenti.