Ffaaza afiiridde mu kabenje – Mbikko

Eklezia Katolika eguddemu ekikangabwa enkya ya leero Ffaaza bw'agudde ku kabenje ddekabusa n'afiirawo mu kiro ekikeesezza olwaleero .

Omugenzi abadde ayitibwa Rev. Fr. Richard Lubaale nga abadde wa myaka 34 y'agudde ku kabenje ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala mu kitndu ekiyitibwa Mbikko nga agambibwa okuba nga abadde ava Lugazi ku mukolo gw'okusabira omwoyo gw'omugenzi eyali Deacon  – Deacon Mulumba gwebasabira buli nnaku za mwezi mukaaga Museene .

Ffaaza yabadde mu mmotoka ye kika kya Rav4 n'atomera ekimotoka ky'ebikajjo kyabadde e Mbikko ku mabbali g'oluguudo bw'atyo n'akitomera nga akiva mabega .

Enteekateeka z'okuziika Fr. Lubaale Eklezi eggyakuba ezitegeeza abantu   

Leave a Reply