Fika Salama addamu okulumba – Police

Police egamba nti ezzeemu okuttukiza ekiwendo ekya Fika Salama ekyaleka abantu nga batekemuse naddala abagoba b’ebidduka. 

Ayogerera Police mu ggwanga,  Afande Asan Kasingye  asinzidde Naggulu ku kitebe kya Police n’agamba nti essira bagenda kuliteeka ku kuvuga endiima,  okuvugisa ekimama,  okuyisiza emmotoka endala awatakkirizibwa, okutikka akabindo,  okuvuga emmotoka nga tolina bisaanyizo oba nga bijingirire n’ebirala ebimenya amateeka gooku nguudo. 

Leave a Reply