Rev. Fr. Simon Lokodo Minisita avunaanyizibwa ku kwasisa empisa awumuzza Passtor Martin Ssempa okuva ku kakiiko akavunaanyizibwa kukulwanyisa obuseegu mu Ggwanga aka Pornography Control Committee (PCC). Ebbaluwa eyawandiikibwa nga 18-Dec-2018 etegeeza nga Pastor Ssempa bweyayimirizibwa kunsonga ezekuusa kukulemererwa okukola emirimu gye nga bwekimusuubirwamu.
Rev. Fr. Lokodo agamba nti bayita Ssempa annyonyole lwaki abadde takola mirimu gye natalabikako wabula naddukira mu kkooti nga awakanya ekyokumugoba era nga kati Minisita alindirira ekinaava mu kkooti. Fr. Lokodo agamba nti Ssempa azze bamujjukiza okukola emirimu gye wabula nga buteerere . Kinajjukirwa nti ono azze yebulankanya nga ne kulanaku lw’okutongonza akakiiko kano mu August 2017 teyalabikako.