Minister wa Ethics ne Integrity Rev. Fr. Simon Lokodo avuddeyo nawandiikira Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga wamu ne Inspector General wa Police nga abasaba bayimirize ekivulu kya Nyege Nyege.
Fr. Lokodo agamba nti ekivulu kino kiyinza okudobonkanya empisa z’eggwanga wamu n’okuyigiriza bannansi empisa ezitali za buntu.
Agamba nti afunye amawulire agesigika nti okuva mu bantu abenjawulo nti ekivulu kino abakitegeka baguliriddwa bayingizeemu obuli bwebisiyaga.