Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’ebitundu Rapheal Magyezi avudde nategeezezza nga Gavumenti bwetalina ssente zakutegeka kulonda kw’aba Ssentebe b’ebyalo aba LC 1 ne LC 2. Kino kijjidde mu kiseera nga ekisanja kyabano kibulako ennaku 4 zokka okuggwako.
Minisita Magyezi agamba nti betaaga obuwumbi 59 okutegeka okulonda kuno ezitaliiwo essaawa eno. Ono ayongeddeko nti engeri gyewatali ssente abali mu bifo bino baakusigala nga bagenda maaso n’okukulembera okutuusa nga Gavumenti efunye ensimbi.