Gavumenti egenda kuleeta etteeka erifuga abakola emmere y’ebisolo n’ebinyonyi okusobola okulwanyisa abakola ebitali ku mutindo. Omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo yasinzidde ku Media Centre mu lukuhhana lwa bannamawulire eggulo n’ategeeza nti olukiiko lwa Kabineeti olwatudde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe lwasazeewo okuleeta etteeka erifuga emmere y’ebisolo.
Mu tteeka tewali muntu ajja kukkirizibwa kutabula mmere ya bisolo nga bw’ayagala okuggyako ng’amaze okufuna olukusa okuva mu Gavumenti. “Bangi babadde batabula omusenyu mu mukene ne kifiiriza abalunzi”, Opondo bwe yategeezezza.
Kabineeti era yawagidde ekya Palamenti okugenda mu maaso n’okuwa Pulezidenti ssente azikozese okukyusa obulamu bw’abantu ab’enjawulo era Pulezidenti z’agabira abantu mu Kampala, Wakiso n’okugula ebikozesebwa byazze awa ebibiina eby’enjawulo.
Wabaddewo okwemulugunya ng’abantu bagamba nti waliwo ebitongole bya Gavumenti ebisobola okugaba ssente zino n’abamu obutategeera mitendera egiyitibwamu mu kuzigaba, naye baakizudde nga kyetaagisa.
Abamu era beemulugunya nti abafuna ssente bafundikira bazirwaniddemu ekireetera obulamu bw’abantu obutakyuka nga bwe kiba kigendereddwa. Olw’okuba nga waliwo abantu Pulezidenti baasisinkana abeetaaga obuyambi n’ebikozesebwa mu mirimu egy’enjawulo n’okutumbula ennimiro z’ebyobulimi kikyetaagisa okubawagira.
Mu bajeti y’omwaka guno, Pulezidenti baamuwa obuwumbi 96 ez’okugabira abantu ab’enjawulo era nga zizze zirinnyisibwa buli mwaka. Kyokka obutafaanana nga bwe kibadde, Pulezidenti tagenda kuddamu kugabira bantu ssente nkalu, agenda kubawanga ceeke n’ebintu ebikalu ebikozesebwa.
Kitegeeza nti ebibiina ebinaaganyulwa birina okubeera ne akawunti n’obukulembeze. Ekitongole ky’amaka g’obwapulezidenti ekirwanyisa enguzi ekya Anti-Corruption Unit ekikulirwa Lt. Col. Edith Kalema kiweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okulondoola enkozesa ya ssente eziba zigabiddwa.
Ekibiina ekyagala okuyambibwa Pulezidenti kisobola okutwala okusaba kwakyo eri omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti oba okutuukirira ababaka ba Palamenti kuba balina omukisa ogusisinkana Pulezidenti. Kyasaliddwaawo Gavumenti okuleeta etteeka erinaaluh− hamya abakadde kuba amateeka ag’enjawulo abakadde babawa emyaka egitafaanagana. Walina okubeerawo enkola eyamba.