Gavumenti egenda kutandika okulondoola ebyamagero Abasumba byebakola – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nategeeza nga Gavumenti bwegenda okutandika okwekkaanya ebyamagero ebikolebwa naddala Abasumba b’Abalokole okukakasa nti Bannayuganda tebalimbibwalimbibwa. Pulezidenti okwogera bino yabadde aggulawo ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande empya gyazimbye eya Temple Mount Church of All Nations at Mulago, Kampala.
Pulezidenti yategeezezza nti yadde Gavumenti erina okussa ekitiibwa mu ddembe lyokusinza: nti wabula erina omutawaana gwokutumbula ebyobulamu, okuziyiza okubbibwa wamu n’okuteekawo obwenkanya. Okugeza yawadde ekyokulabirako ky’omusajja gweyalaba ku TV eyali annyumya nti Maama we bamukebera ne bamusangamu kkookolo, nti wabula oluvannyuma lwokukiriza mu Katonda, yawona, so nga wali wayise emyaka 43 ngabasawo bamaze okukikakasa nti tewali ddagala lya kkookolo.
Pulezidenti yagambye nti kituufu emboozi ezo gyeziri, era nategeeza nti bwebaba bawonya, Gavumenti yevunaanyizibwa ku mutindo, nayongerako nti ebikwatagana n’okuwonya abantu, ebintogole ebivunaanyizibwa ku byobulamu birina okwenyigiramu obutereevu.
Wano weyategeereza nti bafune abantu abo bonna bebagamba nti bawonyezebwa; bakeberebwe abakugu. Olwo bafune ngaye nga balina kusooka kukakasiza ddala nti balwadde nga tanabawonya nga babatwale mu basawo okubaggyako omusaayi wamu n’okubekebejja oluvannyuma Nabbi abasabire bawone. Yayongeddeko nti oluvannyuma bajja kumutendereza olwekyamagero. Yayongeddeko nti Gavumenti kino egenda kukiyingiramu naddala ng’omusumba akifunamu ensimbi.
Yawadde kyokulabirako ky’amazzi agoomukisa e Namugongo, abantu gebanywa nga bagamba nti gawonya. Ne Busoga ku Bishop Hannington Center, abantu gyebasena amazzi mu lutobazi, era okusinziira ku Pulezidenti ebifo bino byonna byakakasibwa.
Yategeezezza nti amazzi gano bwegaba gabwereere, gatwale, bwowona tewali buzibu. Naye Omusumba bwabeera agatundu, eyo ebeera bizineesi, baba balina okwekeneenya amazzi ago okuzuula nti oba tegalina bulabe ku bantu ate bwobeera ogatunda tuba tulina okuzuula oba nga ddala gawonya abantu.
Pulezidenti yalabudde kubulabe obuli mu Bannaddiini abamu abagaana abantu okugenda mu malwaliro okufuna obujanjabi nawa ekyokulabirako ekyomugenzi Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka, eyagaana omuntu okugenda mu Ddwaliro namutegeeza nti yali wakumuwonya wabula oluvannyuma naafa.
Pulezidenti yategeezezza Nabbi Kakande nti olwokuba yamuyise okuggula ekkanisa ye, agenda kulagira ebitongole byebyobulamu okukola naye okulaba nti oba nga ddala awonya eddwadde.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply