Omubaka wa Butambala, Munnakibiina kya
National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi asabye Bannayuganda okuteeka Ababaka baabwe ku nninga babannyonnyole ku ssente obukadde 100 Gavumenti zegenda okuwa buli Mubaka nga tewali kituufu kimanyiddwa kigenda kuzibaweesa.
Kivumbi alumiriza nti ssente ezo Ababaka bagenda kuzibawa ng’akasiimo k’okuyisa ensimbi ezenyongereza mu mbalirira y’Eggwanga wabula abasabye oluzigaana kubanga bwebazirya bagenda kuba bakotoggedde abantu bebakiirira nti kubanga ssente ezo zisobola okukola ebintu ebikulaakulanya Eggwanga.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.