Gavumenti egenda kwewola obwesedde 4 mu obuwumbi 4

Palamenti ekirizza Gavumenti okwewola obwesedde 4 mu obuwumbi 4 okusobola okubaako byemaliriza okuli n’okusasula emisaala wamu n’ensako.
Okusaba kw’ensimbi zino ezenyongereza okuweereddwayo mu Minisitule y’Ebyensimbi wiiki ewedde kugidde mu alipoota y’Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mbalirira esomeddwa mu Palamenti ebadde ekubirizibwa Sipiika Anita Among.
Ku nsimbi zino Minisitule y’ebyokwerinda n’eggye lya UPDF betaagako obuwumbi 620, State House obuwumbi 193 nga zino zakusasula misaala, ensako wamu n’ebintu ebirala.
Minisitule y’Ebyanjigiriza yetaagako obuwumbi 50 okusasula emisaala so nga Minisitule y’Ebyobulamu yetaaga obuwumbi 134. Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde ketaaga obuwumbi 35 okusasula emisaala olwa Treasury efune obuwumbi 228 okusasula emisaala.
Omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi eyakuliddemu mukubaga alipoota y’abatono abadde ayagala embalirira eno etoolebweko obuwumbi 108 nga zino zibadde zakuwa Minisitule y’ebyobusuubzi nga zigendereddwamu okugula ebyuuma biweebwe Atiak Sugar Works, Kkampuni eyobwannanyini nga Gavumenti erinamu emigabo mitono ddala.
Leave a Reply