Gavumenti ekakasizza enkola egenda okutumbula eby’obulamu

Gavumenti ekakasizza enkola egenda okutumbula eby’obulamu ku byalo ng’eyita mu kusaawo abalambula n’okusomesa abantu ku by’obulamu ‘ Community Health Extension Workers’. Enkola egenda kuyitibwamu okutendeka n’okussaawo ab’ebyobulamu bano ku byalo n’okubalung’amya mu nkola y’emirimu gyabwe.Gavumenti era yayisizza enkola y’okugoberera mu kutumbula eby’okutendeka eby’emikono emanyiddwa nga ‘’ Technical, Vocational Education and Training TVET Policy’. Mu nkola eno wagenda kussibwawo akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okutumbula eby’ensoma y’ebyemikono mu matendekero, okulung’amya omutindo gw’ababisomesa, okutereeza ebyengaba y’amabaluwa g’ababisomye, okulongoosa engeri abayizi gye baneegatta ku matendekero gano n’okwongera okubyagazisa abantu.Era olukiiko lwakakasizza nti olunaku lw’okukuza amenunula ag’omulundi ogwa 33 January 26, 2019 lugenda kukwatibwa ku ssomero lya Muwafu Primary School e Nabuyonga mu disitulikiti y’e Tororo.

Leave a Reply