Gavumenti erabudde bannayuganda ku kyeya

Gavumenti erabudde bannayuganda nti beegendereze ekyeya ekibeyenze ebitundu ebyenjawulo e by’egwanga nga kiyinza n’okutuusa mu makkati ga Muwakanya okutuusiza ddala mu Mugulansigo w’omwaka ogujja singa embeera y’obudde tekyukako nga bwerabika.

Bino byalangiriddwa omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku busandali n’ebigwa bitalaze Musa Ecweru bweyabadde mu Palamenti akawungeezi akayise.

Ecweru yabadde ayanukula bingi ku bikwata ku bbula ly’emmere n’amawanika agataliiwo okwo gattako ebyagi mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo.

Minisita bino yabyogeredde mu kiseera ky’okwanukula ebibuuzo okwa Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, era omubaka akiikirira obukiiko kkono bw’e Kirak Anthony Akol bweyabadde ayogera ku nsonga eno yagisimbyeko nnyo amannyo nga agamba nti okujjako nga waliwo ekikoleddwa naye enjala guli ku nfuuzi yaaliwanika amatanga mu ggwaga.

Leave a Reply