Gavumenti ereese abajulizi 140 nga bano bebagenda okuwa obujulizi ku basajja 8 abagambibwa okubeera emabega wokutta Maj. Mohammed Kiggundu wamu n’omukuumi we Sgt. Mukasa Stephen nga 26-November-2016. Bino byogeddwa munnamateeka wabavunaanibwa Geoffrey Turyamusiima wabweru wa Kkooti y’ensi yonna ewozesa bakkalintalo etuula e Kololo mu Kampala.
Bannamawulire balagiddwa okufuluma Kkooti nti era kino ekyakoledda Omulamuzi Elizabeth Kabanda kyabadde kityo lwa nsonga yabyakwerinda. Okutandika okuwuliriza omusango guno kwayongezeddwayo kisobozese Bannamateeka babavunaanibwa okufuna omukisa okuyita mu bujulizi bwabajulizi 140 okuzuula oba nga butuufu.
Kkooti yakuddamu okutuula nga 24-May-2022. Abavunaanibwa kuliko; Nyanzi Yusuf Siraj ne Noordin Lutaaya abali ku alimanda mu kkomera e Luzira wamu ne banaabwe okuli; Yahaya Mwanje, Buyondo Mohammed, Sendegeya Abdu Wahab, Sekandi Musa, Kalyango Jibril ne Balyejjusa Bruhan abateebwa ku kakalu ka Kkooti. Bano bavunaanibwa emisango 2 okuli ogwobutemu wamu n’ogwokuyambako okutumbula emirimu gya ADF egyobutujju.
Bano bavunaanibwa abawaabi ba Gavumenti okuli Chief State Attorney Lillian Alum Omara ne Senior State Attorney Jacquelyn Akol Okui okuva mu offiisi ya Director of Public Prosecution (ODPP).