Gavumenti ebaze etteeka erigenda okulung’amya eby’okusima n’okutunda
eby’obuggagga by’omu ttaka kyokka tekinaterekeka oba omusenyu egenda
kuguzingiramu nga bwe yali esuubizza.
Minisita w’ebyamawulire Frank
Tumweabaze yategeeza gye buvuddeko nti omusenyu kye kimu ku
by’obuggagga bw’omu ttaka gavumenti by’eyagala okutandika okugabirako
layisinsi n’okulung’amya eby’ensima n’entunda yagwo.
Kyokka tekinnategerekeka oba ebbago ly’etteeka erigenda okulung’amya eby’okusima n’okutunda eby’obuggagga bw’omu ttaka erya ‘’ Mining and minerals Bill,2019’’ ligenda kuzingiramu n’ebyokulung’amya okusima omusenyu.
Omumyuka w’omwogezi wa gavumenti Col. Shaban Bantaliza yategeezezza
bannamawulire nti olukiiko lwa baminisita olwatudde e Ntebe ku Mmande
lwakanyizza ne lukakasa ebbago ly’etteeka erigenda okulung’amya
eby’okusima eby’obuggagga bw’omu ttaka, omuli okubiwako
layisinsi,okubikuuma,okulung’amya abasimi b’ebyobugagga ssekinomu
(artisan), okukuuma obulamu bw’abali ku kubisim. n’ebyobitunda.
Kyokka teyambuludde lukalala lwa byabuggagga bwa mu ttaka bigenda
kukwatibwako bbago lino ng’agamba nti teyabaddeyo bye baamuwadde
byasoma.