Ssentebe w’ekitongole ekitwala abalimi mu ggwanga ekya Uganda National Farmers Federation, Charles Ogang agamba nti ebisolo bingi bigenda kufa olw’ekyeya, kubanga enkuba esuubirwa kutonnya ku nkomerero ya gwakusatu oba ku ntandikwa ya gwakuna okusinziira ku b’enteebereza y’obudde
Ng’ayogerako eri ab’amawulire ku yafeesi z’ekitongole ezisangibwa e Nakasero mu Kampala, Ogang akubirizza abalimi naddala abo abalina ente ennyingi, obutazifiirwa mu kyeya kino, batundeko.
Wabula Ssentebe ayagala Gavumenti eteeke envumbo ku basuubuzi b’emmere egenda mu mawanga nga S. Sudan, Kenya n’amala abasussizza okudondola ebirime wamu n’ebisolo by’abalimi mu kyeya ekikutte wansi ne waggulu.