Gavumenti etadde envumbo ku Sipiika Among nabalala 4

Gavumenti ya Amerika evuddeyo neteeka ekkoligo lyobutayigira Ggwanga eryo ku bakulu abalala 5 mu Gavumenti lwa buli bwa nguzi n’obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu.
Bano kuliko Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ngono bamuvunaanye buli bwanguzi obususse obwetololera ku Palamenti gyakulembera, eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu, eyali Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Agnes Nandutu, Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’enfuna Amos Lugolobi bano balangibwa buli bwanguzi obususse wamu n’okukozesa ebintu ebyalina okuyamba Bannayuganda nebabyezza.
Peter Elwelu, eyaliko omumyuuka w’omuduumizi w’Eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces UPDF, naye agaaniddwa kubigambibwa nti yalinyirira eddembe lyobuntu ebitagambika. Amerika egamba nti bano abakulu tebakirizibwa kuyingira Ggwanga lino.
Amerika eyongeddeko nti waliwo n’abantu abalala abagenda okuteekebwako envumbo lwakunyigiriza Bannayuganda omuli aboludda oluvuganya, abebitongole byobwannakyewa wamu n’abantu abalala mu Uganda.
Nabagalwa b’abantu bano okuli; omwami wa Sipiika Among, Moses Magogo Hashim, owa Kitutu, Micheal George Kitutu ne mukyala wa Lugoloobi, Evelyne Nakimera nabo tebakirizibwa kuyingira mu Amerika.
Leave a Reply