Bbanka ya Gavumenti eyamba abantu okwekulaakulanya eya Uganda Development Bank Ltd – UDB erangiridde obuwumbi 150 eri kampuni ezizimba enguudo, amayumba n’ebizimbibwa ebirala. Akulira Uganda Development Bank Patricia Ojangole agamba nti kampuni enzimbi zizze ziraajana okuganyulwa mu bbanka eno wabula olw’okuba bo betaaga ensimbi nyingi, babadde balekebwa ebbali.
Bya Khalid Kintu