Gavumenti egamba nti etandise okugaba emmere eri abantu abali mu bitundu ebikoseddwa ekyeya ekiviiriddeko enjala kakutiya etandise okutwala obulamu bw’abawerako
Kino kiddiridde abantu abawerako wamu n’ebisolo okutondoka olw’enjala ani amuwadde akatebe evudde ku kyeya ekibengeye ebitundu by’ebugwanjuba naddala Isingiro, ebitundu by’e Teso wamu n’e Karamoja nga abangi kibalese bafumbya miyagi.
N’ayogerako ne bannamawulire ku ssegejjero lya Gavumenti – Uganda Media Center mu Kampala, akulira eby’ebirime mu Minisitule y’ebyobulimi, Okaosai Opolot agamba nti ebimotoka ebitwala kasooli bimaze okugoma e Isingiro ne Teso .