Okusinziira ku bikolwa eby’obukambwe ebyayoleseddwa eggulo police ku bawagizi ba Col . Besigye avuganya ku ntebe y’obwa pulezidenti mu kalulu akabuzaayo essaawa obusaawa okukubwa , Besigye agamba nti kati Gavumenti ya NRM etandise okutiitiira olw’akazito k’enkyukakyuka akagituuziddwako bannayuganda .
Besigye bino abyogereddde mu lukiiko lwa bannamawulire lw’atuuzizza ekya ya leero mu makage e Kasangati mwasinzidde okukisimbako amannyo nti ekiseera kya Gavumenti eno kisigazzaayo ennaku bbiri zokka nga bannayuganda bamaze okulonda enkyukakyuka kyebaagala .