Gavumenti eronzeeyo zi Kampuni bbiri okuba nga zivuganya ku eriwa enaawebwa Kkontulakiti y’okuzimba ebbibiro ly’amafuta agaazuulibwa mu bitundu by’e Bunyoro.
Bino byogeddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamasannyalaze n’ebyobugagga ebyomuttaka, Irene Muloni n’agamba nti zi Kampuni nnya zezaaali zassaayo amannya gaazo, naye ku zino ebbiri kwebagenda okulonda emu egenda okukola omulimu guno.
Minisita Muloni agaanye okwatuukiriza amannya ga Kkampuni zino wabula n’agamba nti ajjakulangirira Kampuni enaaba ewangudde ku nkomerero y’omwezi guno.
Wabula guno mulundi gwakubiri nga Gavumenti egezaako okufuna Kampuni egenda okukola omulimu guno.