Minisita w’ensonga z’ebweru era Omubaka akiikirira Mawogola North mu Palamenti Sam Kuteesa asabye Gavumenti esaasire abalunzi mu Disitulikiti y’e Ssembabule abali mu bulumi bw’okuggala obutale bw’ente olwa kalantiini emaze omwaka gumu n’ekitundu nga tewali nte etundibwa ekibaleetedde obwavu.
Ono yabadde mu musomo gwa Basentebe b’ebyalo abasoba mu 1500 gwe yategese mu maka ge e Kisekera mu gombolola y’e Lugusuulu mu Disitulikiti y’e Ssembabule n’asaba Gavumenti esibe abo bokka abalina obulwadde ku malundiro gaabwe, abalala bakkirizibwe okutunda ente.
Mu lukiiko luno, basentebe balaze obwennyamivu olw’enguzi esusse Ku
Disitulikiti ssaako ebitongole by’ebyokwerinda naddala ku batuuze
abagobaganyizibwa ku ttaka n’okweyimirira abantu Ku Poliisi.
Omukolo
gwetabiddwako ababaka ba Palamenti n’abantu abenjawulo okuli Minisita
Harunah Kyeyune Kasolo, Omubaka omukyala owa Ssembabule Anifa Kawooya,
akiikirira Mawogola Joseph Sekabiito, akiikirira Kooki Boaz Kasirabo,
Hon Hajji Muyanja Mbabaali n’abalala bangi.