Palamenti eragidde Gavumenti eriyirire bunnambiro abatuuze b’e Lusanja
abaasengulwa ku ttaka mu bukyamu era evunaane n’abantu bonna abaali
emabega w’ekikolwa kino.
Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba (wa Masaka
Munisipaali) yaleese ekiteeso mu lutuula n’alambika ebintu musanvu
ebirina okukolebwa era ne biyisibwa Palamenti. Abatuuze abasukka mu 350
abaamenyerwa amayumba agawera 160 balina okuliyirirwa bunnambiro. Abantu
bonna abaali emabega w’ekikolwa kino bavunaanibwe n’okukakasa nti
abatuuze baweebwa eby’okusula, emmere n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa
mu bulamu obwabulijjo. Gavumenti era yalagiddwa okutegeeza ababaka
w’enaaba etuuse ku ky’okussa mu nkola ebyasaliddwaawo mu lutuula
olunaasooka nga Palamenti ezzeemu mu January.
Ebirala ebyalagiddwa
Gavumenti mulimu okugoberera amateeka gonna agakwata ku ttaka,
okunoonyereza ku nsonga zonna endala ez’ettaka n’okubangula abantu
ensonga z’ettaka.