gavumenti ewadde disitulikiti ez’enjawulo tractor ezikola enguudo

Tulakita n’ebyuma ebirala ebyeyanbisibwa mukukola enguudo ebisukka mu 1,500 nga byawemmenta obuwumbi bwa ssente 500 byebyagabiddwa mu Disitulikiti zonna mu ggwanga nga kuno kw’otadde n’ekitongole kya UNRA , KCCA ne minisitule y’ebyenguudo n’entambula.
Wabula kuluno tulakita zino wamu n’ebyuma ebirala byassiddwaamu obuuma obubirondoola mu buli kifo weziri ssaako n’amafuta ge zinywedde.
Ying. Samson Bagonza dayirekita w’ebyamakanika mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula yagambye nti ebyuma bino okuva mu Japan ssinga biba bikwatiddwa bulungi bisobola okuwangaala ekiseera ekisukka mu myaka 30. Ekigendererwa kyali kya kulaba nga buli disitulikiti esobola okwekolera ku nguudo zaayo.
Ekibinja ky’abavuzi n’abalabirira tulakita zino 109 okuva mu disitulikiti 14 baasiibuddwa oluvannyuma lw’okumaliriza okutendekebwa kwe bamazeemu wiiki bbiri mu ttendekero ly’ebyobulimi erya Bukalasa Agricultural College ku Lwokusatu.
Wabula abakola ku byuma bino abaabadde mu kutendekebwa baalaze obutali bumativu olw’omusaala omutono ogubaweebwa ate nga bakola emirimu gya maanyi era nga baagala gavumenti ebakkirize beekolemu ekibiina ekibagatta mwe banaasobola okwanjiza ebizibu byabwe eby’enjawulo eri Gavumenti.

Leave a Reply