Gavumenti eyagala basonyiwe Fresh Cuts omusolo ogugibangibwa URA

Minisitule y’ebyensimbi evudde nesaba Palamenti ebakirize basonyiwa kkampuni ya Fresh Cuts (U) Limited omusolo oguwereza ddala obukadde 607,931,933 oluvannyuma lwa Uganda Revenue Authority okutegeeza nti tekyasobola kununula ssente ezo.
Okusaba kuno kuleeteddwa Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’ensimbi kino kizze nga wakayita wiiki emu yokka nga Palamenti ekirizza okusaba kwa Gavumenti okusonyiwa bizineesi eziwerako ensimbi eziri eyo mu buwumbi 9.
Leave a Reply