Minisitule y’ebyobulimi edduukiridde abalimi mu disitulikiti y’e Kalungu n’eddagala eritta obusaanyi obulya kasooli obumanyiddwa nga Army Warm ery’ekika kya Striker, nga libalirirwamu liita 35.
Eddagala lino ligabanyiziddwa mu ggombolola nnya ne ttawuni kkanso ssatu.
ezikola disitulikiti eno, nga mu nteekateeka eno buli ggombolola
eweereddwa liita ttaano era akulira ebyobulimi mu Kalungu Kiyemba Paul
bwabadde akwasa abalimi ab’eggombolola eddagala lino ategeezezza nti
lireeteddwa n’ekigendererwa ekyokusomesezaako abalimi engeri
y’okuttamu obusaanyi, n’agamba nti mu mbalirira y’omwaka gavumenti
y’akubongera eddagala eddala.
Eggombolola ezisinze okukosebwa akasaanyi kano kuliko Bukulula,
Lwabenge, Kyamuliibwa ne Kalungu Rural ng’emisiri gy’akasooli egisinga
obungi gisaanyiziddwaawo.
Wabula abamu ku bakulembeze mu kitundu kino nga bakulembeddwaamu
Sserwanja Charles akiikirira eggombolola y’e Bukulula, bagamba nti
abalimi bangi abakoseddwa obusaanyi buno kyokka nti eddagala
eribaweereddwa ttono nnyo, nebawanjalira minisita
w’ebyobulimi Vicent
Bamulangaki Ssempijja okubadduukirirayo n’eddagala eddala.