Gavumenti tevunaanyizibwa ku bikolwa bya bebyokwerinda mu kalulu e Kawempe – Minisita Bahati

Gavumenti evuddeyo neyesamba efujjo erikolebwa abebyokwerinda abambala ebyambalo ebiddugavu ebya JATT mu kalulu ka Kawempe North netegeeza nti ebyokukuba Bannansi Gavumenti terina gweyalagidde kukikola.
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobusuubuzi n’amakolero David Bahati bino yabitegeezezza Palamenti nategeeza nti oyo yenna eyenyigira mu bikolwa bino wakuvunaanibwa nga muntu.
Bahati abadde ayanukula okwemulugunya okuleeteddwa Ababaka ku ludda oluvuganya abenjawulo gabagamba nti Bannayuganda bangi bakwatibwa mu kalulu kano.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply