Ofwono Opondo nga ye mwogezi wa Gavumenti avuddeyo n’ekiwandiiko ekidda mu kwemulugunya kwa Lawyer w’Omubaka Kyagulanyi Mr. Amsterdam;
Ensonga y’omubaka Kyagulanyi aka Bobi Wine eri mu Kkooti mu Uganda era nga avunaanibwa omusango gw’okulya mu nsi ye olukwe wamu n’okukuma omuliro mu bantu era nga tekyewuunyisa nti Bannamateeka be okuli Bob Amsterdamu bafuba nnyo okumutaasa nga bateekawo ebintu ebibuzaabuza nga balaga nga bwe yatulugunyizibwa ennyo ekitanakakasibwa.
Nabwekityo Mw. Amsterdam bweyogedde bikyaamu ku Ugnada era tebyewuunyisa. Bwekiba nga kituufu Bobi Wine yatulugunyizibwa era nakubwa empiso ezirimu byatategeera nga bwagamba, akomewo mangu mu Uganda ensonga ezo azitwala mu kkooti gyavunaanibwamu era Kkooti etandike okukola okunoonyereza okwamazima okutaliimu kyekubiira era abakikola bajja kukwatibwa bavunaanibwe. Nabwekityo bino byonna byeboogera byakisiru kuba Bobi Wine siyavunaanibwa yekka ku musango guno era ne Gavumenti ya Uganda tetemula bagivuganya yadde balabe baayo. Uganda egondera amateeka, era ne Uganda Medical Board yasindika abakugu abekebejja Bobi Wine ngeri eyekikugu nga temuli mankwetu nga waliwo ne Bannamateeka be week ewedde nga tanava Uganda, era nga tewali mbeera yabulamu gyebazuula eyali emwetaagisa okutwalibwa ebweru w’eggwanga okujanjabwa. Sirowooza nti Mw. Amsterdam, Munnamateeka alina obumanyi obwekebejja obulamu bw’omuntu n’okumanya embeera mwali.
Nabwekityo tuwakanya ebyogeddwa Mw. Amsterdam nti Gavumenti ya Uganda ejjudde abamenyi b’amateeka ku Uganda efugibwa okusinziira ku Ssemateeka, amateeka n’ebiragiro era nga egoberera omutindo n’amateeka g’ensi yonna.
Ofwono Opondo P’Odel
Executive Uganda Media Centre/ Government Spokesperson