Gavumenti yakuyamba ku basanze ku ttaka okufuna Certificates of Occupancy – Hon. Nabakooba

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo nagumya abakungu okuva EU ne GIZ nti Gavumenti neteefuteefu okumalawo obukuubagano bwonna obuliwo wakati wa Bannanyini ttaka wamu n’abebibanja ku ttaka lya mayiro.
Minisita Nabakooba yabadde asisinkanye abakungu okuva mu EU ne GIZ ku lwa Gavumenti okubeebaza omulimu gwebakoze mu Disitulikiti y’e Mityana, Mubende, Kassanda ne Gomba okulaba nti bamalawo obukuubagano ku ttaka wakati wabasenze ne bannanyini ttaka ekiyambye okukendeeza kukugobaganya abantu ku ttaka.
Nabakooba yakakasizza abakungu bano nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nti ewandiisa abasenze bonna ku ttaka era okulaba nti bafuna Certificate of occupancy ku mutendera oguddako.
Abakungu okuva mu EU ne GIZ okwabadde; Iris Knabe (German Embassy), Christina Banuta (EU), James Macbeth Forbes (GIZ Country Director), Chistina Ketter ne Daniel Kirumira (GIZ – RELAPU Project) basuubizza okuwagira Gavumenti mukumalawo obukuubagana obwekuusa ku byettaka.
Leave a Reply