Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Oluvannyuma lwenkiiko eziwerako, Gavumenti ekirizza okwediza Busoga University nga Ssetendekero wa Gavumenti nebbanja lyayo eryobuwumbi 15. Gavumenti ejja kusasula ebbanja lino oluvannyuma lwokunnyonyolwa ensimbi zino kyezakola oba nga kyali kya bulungi bwa Bannanyuganda. Ezimu kunsonga National Resistance Movement – NRM zesimbako essira kwekuba nti buli kitundu kirina Ssetendekero wa Gavumenti. E Busoga Gavumenti egenda kuzimbayo Ssetendekero e Namasagali. Byonna ebyo nga biryawo Gavumenti okwediza Busoga University ekikoze mu mutima mulungi.”