Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga eby’okutulugunyizibwa kwa Bannayuganda
abagenda ebweru ku kyeyo abitadde ku Gavumenti gy’alumiriza nti
eremeddwa okussaawo enkola ennung’amu erondoola obulungi embeera
abagendayo gye balina okukoleramu naddala emisaala n’essaawa bye balina
okukolera.
Yagambye nti okuva mu Palamenti y’omunaana ababaka
beesibye ku Gavumenti nga baagala erambulule emisaala n’embeera
Bannayuganda abagenda ku kyeyo gye balina okukoleramu okugeza essaawa
gye bakolera kyokka nga (Gavumenti ) ebaweta kikuubo.
Yabadde annyonnyola ku mirimu egyakakolebwa Palamenti ey’ekkumi
eyatandika mu 2016. Ebuzaayo emyaka ng’ebiri n’ekitundu eyabuke.
Yalabudde ababaka ba Palamenti obuteesiba ku bya kwetaba mu mikolo gya
kuziika na kwabya nnyimbe kwokka wabula bawe obudde obusingako eri
emirimu gya Palamenti emitongole gye balina okukola.
Yagambye nti
ekimu ku bigenda okwongera okukuumira abawala mu masomero baleme
kuwanduka kwe kuzimba amasomero ag’okumpi kibawonye okutambula ebbanga
eddene nga bagenda okusoma.
Yategeezezza nti abavubuka balina
okuwebwa obukugu ow’enjawulo basobole okufuna emirimu
egy’okweyimirizaawo. Yagambye nti May 2019 w’anatuukira Palamenti ejja
kuba emaze okuyisa amateeka nga 20 kyokka n’agamba nti etteeka erikwata
ku nkyukakyuka mu by’obukulonda lirudde okuletebwa gavumenti