Gavumenti yetukuumidde mu dduka dduka e Karamoja – Bakulembeze ba NUP

Abakulembeze ba National Unity Platform – NUP okuva e Karamoja bavuddeyo enkya yaleero nebalumiriza Gavumenti ya Yuganda nti ekikola mu bugenderevu obutabawa bukuumi mu kitundu kyabwe okubaleka mu dduka dduka.
Bano bagamba nti ebitongole bebyokwerinda tebikoze kimala okukuuma obutebenkevu mu kitundu kyabwe.
Omu ku bakulembeze Ayen Ernest agamba nti abasirikale bookya ennyumba z’abatuuze nga kwebatadde n’okubagoba ku ttaka lyabwe.
Ono ayongeddeko nti kati enkuba ettonya e Karamoja naye batya okugenda mu nnimiro zaabwe okuba keberimira.
Bya James Kamaali
Leave a Reply