Gavumenti ya America nga eyita mu Treasury Department evuddeyo neteeka envumbo ku eyali omuduumizi wa Poliisi ya Uganda Gen. Edward Kale Kayihura nga emuvunaana obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero Gavumenti ya Amerika egamba nti Kayihura yenyigira butereevu mu kutulugunya abasibe e Nalufenya mu Jinja. Kigambibwa nti Kayihura nga omuduumizi wa Poliisi yalina abantu be beyakulira nga mu kitongole kya Poliisi ekya Flying Squad abenyigiranga mu kutulugunya abasibe e Nalufenya Special Investigations Center (NSIC).
Kigambibwa nti aba Flying Squad bakozesanga emiggo, wamu n’ebigala by’emmundu okutulugunya abasibe mu NSIC. Waliwo omusibe omu agamba nti yakubwa n’ebintu ebyenjawulo ekyamuleetera n’okuzirika. Abasibe bongera okulumiriza nti abamu bwebamalanga okutulugunyizibwa nga bawaabwe omuwendo gwa ssente bakirize nti ddala benyigira mu bikolobero ebibavunaanibwa.
Sigal Mandelker, Treasury Undersecretary for Terrorism and Financial Intelligence avuddeyo nategeeza nti kano kabeere akabonero akokulabula eri abakozesa obubi obuyinza bwabwe okwetoloola ensi yonna.
Kayihura wamu nabe nnyumba ye okuli mukyala we Angela Umurisa Gabuka, muwala we Tesi Uwibambe, ne Mutabani we Kale Rudahigwa eby’obuggagga byabwe ebiri mu USA biteereddwako envumbo, tebakirizibwa kukola busuubuzi bwonna ne kkampuni oba Gavumenti ya America.