Akulira ekitongole kya Police mu ggwanga General Kale Kayihura wamu n’abasajja be musanvu tebalabiseeko mu kooti ento e Makindye enkya ya leero, nga babadde basuubirwa okuwerennemba n’emisango egikwatagana n’okutulugunya bannayuganda.
Wabula ate era e kyewuunyisa nti ne bonna abasatu abawaabi abaali bakubye ebirayiro nti ddala bituufu baakubwa Police tebalabiseeko ne Puliida waabwe Nicholas Opio nga bagamba nti tebasobodde kulabikako olwa abamu ku bannaabwe okuyisibwa okutali kumu.
Abantu bano abasatu Andrew Ssebitosi, Rogers Ddumba ne Joseph Kaddu olunaku lwa jjo baagambye nti omusango baaguvuddemu nga bagamba nti baali baguliddwa oludda oluwaabi balyoke balumirize Kayihura ku nsonga zino.
Abasatu bano wiiki ewedde baali baakakasa omulamuzi agenda okuwozesa omusango guno era n’afulumya ebibaluwa ebiyita Kayihura ne banne balabikeko mu kooti leero. Wabula bano bonna tebakubidwako kimunye.
Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 29 Muwakanya wakati mu bawagizi ba Kayihura ababadde beecwacwana.