Giweze emyaka 37 kasookedde Amin amaamulwa mu ntebe .

Olwaleero giweze emyaka 40 okuva Pulezidenti Idi Amin Dada omukulembeze eteerya ntava amaamulwa ku buyinza . katukuwe ku bimu ku byabaawo ng’obuyinza bumuva mu ngalo.

Nga awambibwa, ekiro ky’olwokusatu nga 11 . 04, 1979, Amin yali akyali Munyonyo mu Kampala wadde nga 10 . 04. 1979 , kisuubirwa nti amagye ga Tanzania gaali mu Kampala .

Amin yali ayagala kufiira mu lutalo era nga omulwanyi wabula oluvannyuma abakuumi be nebamuteeka mu motoka ye kika kya Benz ne begattibwako emmotoka endala ez’ebbeeyi era kika kya Benz ne zoolekera Jinja kubanga mu kiseera ekyo Kampala yali asaliddwako abanunuzi .

Bw’atuuka e Jinja Amin yayogerako eri eggwanga mu nnaku ey’ekitalo oluvannyuma n’ayolekera Arua ne Koboko mu mambuka ga Yuganda . Wabula mu kwogera kwe yajjukiza abasoga ne bannayuganda okutwalira awamu ku birungi by’abakoledde byebatajjukidde wabula okumwefuulira mu kadde ako .

”Mwagala ngende naye olunaku lumu mulinjogerako nti nakolera eggwanga lino ebirungi” .  Mulinnoonya naye nga temuyinza kunfuna , abantu baggya kundaagyanira naye nga sikyafunika ”. Bwayayogera Amin wakati mu kiseera nga abantu bagamba ”Agende kijambiya”.

Nga ennaku zomwezi 11. 04 . 1979, Amin nga ayita ku Radio Deuschwelle alagira abaserikale be bagende mu maaso n’okulwana bafe n’emmundu zaabwe era agamba nti ye yali akyali Pulezidenti wa Yuganda .

Oluvannyuma ku ssaawa nga 03. 56 ez’akawungeezi amayengo ga UBC gatandika okutataaaganyizibwa oluvannyuma Lt. Col. David  Oyite – Ojok. alangirira nti Amin takyali mu buyinza .

Kunkomerero ya bino ku ssaawa bbiri ez’ekiro nga 12.04.1979 , Radio ye Dar – es Salaam e Tanzania erangirira okuyungako Radio Uganda era mu kaseera mpa wekaaga Yusuf Kironde Lule alangirira  okuba  Ssentebe wa Executive Committee of the Uganda National Liberation Front .

Leave a Reply