Brig. Gen. Felix Kulayigye olunaku olwaleero akwasiddwa offiisi y’omwogezi (UPDF Spokesperson) w’eggye lya UPDF mu butongole okuva ku mu myuuka w’omwogezi Lt Col Ronald Kakurungu abadde akola nga omwogezi.
Chief of Personnel & Administration Maj. Gen. George Igumba yakulembeddemu omukolo guno atenderezza Brig. Gen. Kulayigye nategeeza nti akomyeewo okwongera amaanyi mu kitongole.