Gavumenti evuddeyo nesaba Palamenti okuyisa ekiteeso ku muntu asangibwa nga akola, atunda oba atambuza fireworks n’ebintu ebirala ebitulika (explosives) nga talina lukusa kukikola okuwa engasi ya buwumbi 10 oba okusibwa obulamu bwe bwonna nga kino kisinga ekibonerezo ekibaddewo ekyokuwa engasi ya 2000/= oba okusibwa emyezi 6 nga kino kiri mu tteeka ly’Abafuzi b’Amatwale ery’emyaka 87 erya Explosives Act 1936 Cap.298.