Abatuuze mu Disitulikiti y’e Kassanda bakutte omusajja agambibwa okuba nga asangiddwa my musiri gwemmwaanyi ngazibba okukakkana nga bamutemyeeko engalo okuva mu kiseke ku mikono gyombi.
Ssenkima Bosco 40, yatemeddwako engalo bwasangiddwa nganoga emmwaanyi mu musiri gwomutuuze. Ono yaddusiddwa mu Ddwaliro lya Kassanda HCIV gyafunira obujjanjabi.
Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttuntundu ly’e Wamala Racheal Kawala agamba nti batandise dda okuyigga abakoze ekikolwa kino kyettima.
Bya Joseph Balikuddembe