Gwebatwalako yiika z’ettaka 150 e Kayunga awanjagidde omulamuzi Bamugemereire

Waliwo omusajja mu Disitulikiti y’e Kayunga awanjagidde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akali mu kanoonyereza ku ndooliito z’ettaka mu ggwanga kataase ettaka lye eriwerako yiika kikumi mu ataano(150) ly’agamba nti waliwo ow’oluganda lwa Minisita Lt. Henry Tumumukunde alimutwalako ku kifuba. 

Badru Ssemugga nga mutuuze ku kyalo Kigembo ekisangibwa mu ggombolola y’e Galilaaya mu Disitulikiti y’e Kayunga agamba nti Omusajja Kiiza Arthur ng’ayita Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyokwerinda,  Lt. Henry Tumukunde kojja amusindiikiriza okuva ku ttaka lye era yapangisa n’agasajja ga kawuula agamutangira okugenda ku ttaka lino.

 

Leave a Reply