Waliwo Abantu abalumbye Hajji Isaac Mulindwa nebamutematema wamu n’okwonoona emotoka ye bweyabasanze nga bazimbye ennyumba yabakuumi ku ttaka lye erisangibwa e Kkonge, Kansanaga. Bano abamutemye babadde baduumirwa Mathew Bakyawa ngono musirikale wa Ggye lya UPDF ngono kigabibwa nti akolera Sodo Kaguta nga ono muganda wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.