Hajji Kabuye owa Kagoma Tea akwatiddwa

Hajji Kabuye Abdul owa Kagoma Tea akwatiddwa enkya yaleero bwabadde agenze okweyanjula ku kitebe kya SIU e Kireka ku misango egyekuusa ku by’ettaka. Ono ateekeddwa mu Motoka ya Poliisi nga mukadde kano bamwolekeza Disitulikiti y’e Mubende gyagenda okusimbibwa mu maaso g’omulamuzi avunaanibwe.

Leave a Reply