Minisita w’ebyempuliziganya, Tekinologiya n’obuyiiya mu Gavumenti ya wakati Hon. Judith Nabakooba akyaddeko embuga nawayaamu ne Katikkiro wamu ne Baminisita ba Kabaka ku ngeri gyebayinza okukwatira awamu okutumbula ebya Tekinologiya mu ggwanga.
Mu kwogerakwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti mu biseera ebyayita omuntu eyalina zaabu, amafuta, oba obufuzi bw’amatwale yeyalinga omugagga, wabula mu kiseera kino omuntu alina Tekinologiya ye mugagga. Agambye nti enteekateeka zonna ez’okulaakulanya abantu zirina okuwagirwa Tekinologiya. Amusabye akole kaweefube w’okulaba nga bannayuganda bafuna smart phones kubanga omuntu alina smart phone ategeera mangu enteekateeka eziriwo.
Katikkiro asomoozezza aboogezi ba Gavumenti nti lwaki teboogera ku nteekateeka ziyamba bavubuka nga okulima emmwanyi. Kyewuunyisa nti aboogezi ba Gavumenti badda mu kwogera by’abufuzi okuva ku makya ppaka lwaggulo ebintu ebitayamba bantu.
Hon. Nabakooba yeebazizza Katikkiro n’obwakabaka olw’enteekateeka y’emmwanyi terimba eyambye abantu okwekulaakulanya.
Hon. Nabakooba awerekeddwako abakungu okuva mu minisitule gyakulembera.