Hon. Kyagulanyi wa ddembe okugenda okujanjabwa – Kayima

Omwogezi wa Poliisi Emirian kayima avuddeyo nategeeza nti DPP yavaayo nga 23-August-2018 nalagira Poliisi okukola okunoonyereza kubigambibwa nti Omubaka Kyagulanyi Ssentamu yatulugunyizibwa nga kyamutegezebwa President w’ekibiina ekitaba Bannamateeka mu Uganda era ne Poliisi nesitukiramu.

Wabula okunoonyereza kuno kwetaaga abasawo ba Gavumenti okukebera omuntu oyo abeera agambibwa nti yatulugunyizibwa mu bwangu ddala wabula bino byonna byali tebinakolebwa olunaku lw’eggulo nga 30-Aug-2018 Poliisi yakitegeddeko nti ono yabadde afuluma eggwanga.

Nabwekityo Poliisi yamugaanye okugenda era nemutwala e Mulago National Referral Hospital – Kiruddu nga eyambibwako abasawo abakugu.

Hon. Kyagulanyi akebereddwa abasawo ba Gavumenti abakugu era Poliisi nemukiriza okugenda okujanjabwa ebweru w’eggwanga.

SSP Emilian Kayima

Public Relations Officer,

UGANDA POLICE FORCE

AUGUST 31, 2018

Leave a Reply