Hon. Kivumbi awakanyizza ekiteeso kyokuggya obwesige mu Zaake

Ku lw’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Muwanga Kivumbi avuddeyo nawandiikira Clerk wa Palamenti ng’awakanya ekiteeso ekyaleeteddwa Omubaka Mapenduzi Ojara ngayagala okuggya obwesige mu Kkamisona wa MP Zaake Francis Butebi. Mu kiwandiiko kya Hon. Kivumbi eri Clerk, agamba kino omubaka kyayagala okukola kimenya amateeka agabafuga mu Palamenti naddala akawaayiro 107 ennyingo 2 okutuuka ku 7.

Leave a Reply