Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP J.M Okoth-Ochola olunaku olwaleero akuzizza abasirikale ba Poliisi 198 abamaliriza okutendekebwa kw’emyezi 6 ku Police Training School e Kabalye mu Disitulikiti y’e Masindi nabatuusa ku ddala lya Assistant Inspector of Police (AIP).
Bano basirikale batendeke mu bukungu obw’enjawulo okuva mu bitongole okuli Directorate of ICT, forensics, FFU, medical ne instructors. Bwabadde ayogerako eri abasirikale bano Director Human Resource Development AIGP Godfrey Golooba ng’ono yabadde omugenyi omukulu akuutidde abasirikale bano okwekuuma nga balamu era bafeeyo nnyo ku mirimu gyabwe. Ono abasabye okwewala ettamiiro wamu n’okukozesa ebiragalalagala wamu n’okwewala okukwatibwa akawuka akaleeta mukenenya kuba atta. Abakubirizza okwewala obuli bw’enguzi n’obukenuzi.