IGP n’omuduumizi wa UPDF mutuyambe ku musirikale wa UPDF – Batuuze e Buvuma

Abatuuze mu Disitulikiti y’e Buvuma balaajanidde Omubaka wa Pulezidenti wamu n’omuduumizi wa Uganda Police Force okuvaayo babayambe ku musirikale wa UPDF eyakuba omwana ow’emyaka 4 okubula okumwolekeza e kaganga natakoma okwo nateeka n’abakakiiko b’e kyalo Kitiko ku mudumu gw’emmundu nabebasa mu ttaka nga bamuyise annyonyole ekyamukubizza omwana.
Kigambibwa nti omusirikale wa UPDF eyategeerekeseeko erya Robert ng’ono yomu ku basirikale bebateka ku detach ekkuuma ekibira ekimanyiddwa nga Nandala mu Ggombolola y’e Nayirambi, yakuba omwana Najibu Iguru okubula okumutta ngamulumiriza okumukuba amayinja bweyali ayita okumpi newabwe.
Okusinziira ku Maama w’omwana ono, Aisha Namugaya, agamba nti yatuuka ku mwana we nga agudde wansi w’omuti ngakaaba mu bulumi obungi nga n’okugulu kwe kuzimbye nga tasobola nakussa, bwatyo nakuba enduulu afune obuyambi okuva ewa bba eyatuuka mu bwangu namugamba basooke bamutwale ewa Ssentebe wabula bweyalaba embeera yomwana nga mbi nnyo nasooka amaddusa mu ddwaliro.
Abdulla Muyodi, Taata w’omwana agamba nti bweyali ava mu Ddwaliro basisinkana n’omusirikale ono era namubuuza ekimukubizza omwana we, omusirikale yamugamba agenda mu LC amuwawabire ate amulinde nayo, kuba naye yali wakugendayo yewozeeko.
Abakakiiko bwebatuula okugonjoola ensonga eno, omusirikale ono yajja nga ayambadde ebyambalo by’amaggye ngabagalidde n’emmundu era nalagira abakakiiko okwebaka mu ttaka oba si kyo abakube amasasi, Muyodi bwagamba.
Ayongerako nti yamulagira amutwale mu maka ge era nagaana abakakiiko okubagoberera nti wabula bweyatuuka mu kabuga k’e Kitiko, omusirikale natandika okulekaana nga bwatiisatiisa abatuuze okwewala okwemulugunya ku basirikale ba UPDF abali mu kitundu kino awo Muyodi weyatolokera neyekweka mu nsiko.
Muyodi agamba nti bagezaako okuggulawo omusango ku Poliisi ne Ssentebe w’ekyalo wabula nebabalagira bagende ewa RDC. Bwebatuuka ewa RDC ku ssaawa nnya ez’ekiro yabalagira baddeyo ewuwe enkeera era bweyamala okuwulira ensonga yaabwe nalagira Poliisi enoonyereze ku nsonga yaabwe nti wabula ekyenaku tebalabanga ku musirikale wa Poliisi ajja ku kyalo. Muyodi agamba nti wadde DPC yakiriza nti omwana waabwe yatulugunyizibwa nti wabula yakubira omusirikale ono namulagira abaliyirire era nabaggyako n’emapapula z’eddwaliro kwebajanjabira omwana.
Ku lwokuna lwa wiiki eno omusirikale wa UPDF ayogerwako ngaliwamu ne GISO bagenda mu maka ga Muyodi ku biragiro bya DPC nebabakaka okukiriza emitwalo 5, era nebabakaka okuteeka omukono ku kiwandiiko ekikiriza nti babaliyiridde ssente ezaali zitamala kujanjaba mwana. Muyodi agamba nti yakozesa emitwalo 20
Omwana agenda akuba ku matu wabula nga asanga obuzibu okutambula nga namabwa gagenda gakala. Ssentebe wa LC Patrick Kaaso agamba nti bonna bali mu kutya kuba omusirikale eyabasuubiza okubatta akyatambula ku kyalo nti era yasuubiza okukuba ekyalo kyonna amasasi akimalewo singa banalemera ku nsonga eno.
DPC, Emilly Angomu bweyatuukiriddwa yagaanye okubaako kyayogera ku nsonga eno, wabula ye RDC, Deborah Mwesigwa yategeezezza nti yalagira Poliisi okukola okunoonyereza ku nsonga eno.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Nolwaleero Dj Jet B agenda kubakuba omuziki muyite bute.

Nolwaleero Dj Jet B agenda kubakuba omuziki muyite bute. ...

1 0 instagram icon
Kitalo!
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kisoro era Minisita Omubeezi ow'ebyokwerinda era avunaanyizibwa ku nsonga zabazirwanako Sarah Mateke afudde.
#ffemmwemmweffe

Kitalo!
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y`e Kisoro era Minisita Omubeezi ow`ebyokwerinda era avunaanyizibwa ku nsonga zabazirwanako Sarah Mateke afudde.
#ffemmwemmweffe
...

36 3 instagram icon
Sports Updates;
South Africa ekulembeddemu Uganda Cranes ggoolo 1 ngeteebeddwa Lyle Foster.
South Africa 1-0 Uganda
#AFCON2025Q
#RSAUGA

Sports Updates;
South Africa ekulembeddemu Uganda Cranes ggoolo 1 ngeteebeddwa Lyle Foster.
South Africa 1-0 Uganda
#AFCON2025Q
#RSAUGA
...

24 0 instagram icon
Olwaleero mu Program Tokammalirawo ne Sureman Ssegawa tuluna Recho Rey tomusubwa!
#ffemmwemmweffe

Olwaleero mu Program Tokammalirawo ne Sureman Ssegawa tuluna Recho Rey tomusubwa!
#ffemmwemmweffe
...

4 0 instagram icon
Ku St Nicholas Othordox Church e Namungoona wewategekeddwa misa yokujaguza nga bwegiweze emyaka 3 bukyanga ArchBishop Jerommous Mzei atuuzibwa mu kifo kino oluvannyuma lwa ArchBishop Jonah Lwanga okuva mu bulamu bwensi.
Bya Nasser Kayanja 
#ffemmwemmweffe

Ku St Nicholas Othordox Church e Namungoona wewategekeddwa misa yokujaguza nga bwegiweze emyaka 3 bukyanga ArchBishop Jerommous Mzei atuuzibwa mu kifo kino oluvannyuma lwa ArchBishop Jonah Lwanga okuva mu bulamu bwensi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
...

12 0 instagram icon